ESSAALA EYO KUSABIRA EMYOYO EGYIRI MU PULIGATORI NA MATENDO
_N:B; Tukozesa sapule eyabulijo, era awagenda ekikolwa somawo (Ayi Kitaffe ataggwawo.....) ate kumirembe Maria 10 somawo (Ayi omukama bawe ekiwumulo ekyemirembe........)_
Mulinya Lya Patra ne rya mwana ne rya mwoyo mutukirivu....Amiina...
Netondera katonda patri omunzinza wabuli kantu......
(Ssawo emyoyo ejili MU purgatory mumitendera..........)
Nzikiliza katonda........
Kitaffe Ali mugulu........
Mirembe Maria.........×3
Ayi kitaffe atagwawo,tukuweleza omusayi ogwo muwendo enyo ogwo mwanawo Yezu kristu,awamu Ne bitambilo bye misa ezinasomwa leero munsi Yona kulwe myoyo ejili mu puligatori,abononyi abali munsi yonna,Ne mwe kelezia katolika, abomunyumba yaffe Ne mumaka gaffe
Amiina.
Ayi mukama bawe ekiwumuro ekye mirember Ne kitagal......×10
Ayi kitaffe atagwawo.............
AMATENDO G'EMYOYO EGIRI MU PURIGATORI
Avi Mukama tusaasire...... Ayi Mukama tusaasire
Ayi Kristu tusaasire.......Ayi Kristu tusaasire
Ayi Mukama tusaasire......Ayi Mukama tusaasire
Ayi Kristu tuwulire ......Ayi Kristu tuwe
Patri ow'omu ggulu Katonda.... saasira emyoyo gy'abakkiriza abaafa
Mwana Omununuzi w'ensi
Katonda......//
Mwoyo Mutuukirivu
Katonda.....//
Trinita Omutuukirivu Katonda Omu....//
Maria Omutuukiivu Nnyina Katonda Omutuukirivu......sabira emyoyo gy'abakkiriza abaafa
Mikayiri Omutuukirivu.....//
Gabudyeri Omutuukirivu.....//
Bamalayika ne Bassabamalayika mwenna......//
Yowana Batista Omutuukirivu.....//
Yozefu Omutuukirivu.....//
Bajjajjaffe mwenna abafu n'abalanzi mwenna.....//
Petero Omutuukirivu.....//
Pawulo Omutuukirivu.....//
Yowanna Omutuukirivu.....//
Abatume mwenna.....//
Abatuukirivu n'abalangirizi b'evanjiri.....//
Sitefaano Omutuukinyu.....//
Lawulensio Omutukirivu
.....//
Abajjulizi mwenna abatuukirivu.....//
Girigooli Omutuukirivu.....//
Ambrozi Omutuukirivu.....//
Abepiskopi mwenna n'abejusisi
abatutkirivu.....//
Maria Magdalena Omutuukirivu.....//
Katalina Omuruukirivu.....//
Ababeererevu ne bannamwandu Abatuukirivu.....//
Abatuukirivu mwenna aba Katonda..... //
Tusaasire otusonyiwe Ayi Mukama
Tusaasire , otuwulire Ayi Mukama
Ayi Mukama tusumulule
Buli kibi kituwonye ......Ayi Mukama tusumulule
Obusunga bwo butuwonye......//
Ennimi z'omuliro zituwoye......//
Ekisiikirize ky'olumbe kituwonye......//
Olw'okuba wagwa munda nga tolina kibi.....//
Olw'okuzaalibwakwo Okutukuvu......//
Olw'obusaaszi bwo obungi ennyo.....//
Olw'okubonaabona kwo okw'obulumi ennyo......//
Olw Ebiwundu byo ebitukuvu.....//
Olw ' Omasaayi gwo ogw'amuwendo ennyo......//
Olw'okufa kwo okw obulumi n'ensonyi.....//
Ffe abonoonyi ........tukusaba otuwulire
Ggwe eyasonyiwa omukyaala omwonoonyi n'owulira essaala yomubbi omulungi....// Osumulule abafu baffe.....//
Osumulule bakadde baffe......//
Osumulule abenganda zaffe.....//
Osumulule abatuyambako , obajjeko emisango gyabwe ate obawonye ekibonerezo........//
Oyanguwe okukyaalira abakkiriza abali mu bifo eby'okubonaabona , obatwale obatuuse mu Kibuga eky'emirembe egitagwaawo.......//
Okendeezeko ku bbanga ery'ekibonerezo olw'ebibi byaabwe , mu kisa kyo obakkirize bayingire mu Kiggwa kyo ekitukuvu eyo.....//
Olw'essaala n'ebikolwa eby'ekisa bya Eklezia wo ddala mu ceyingira atali mulongofu kitambiro ekitukuvu ku Altaari yo.....//
Obaanirize mu tabernakulo ey'ekiwumulo obambaze engule gye beegomba nga basuubira essanyu eritaggwaawo , ye Mwana wa Katonda .....//
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi .....bawe ekiwumulo eky'emirembe
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi ....bawe ekiwumulo eky'emirembe
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi..... bawe ekiwumulo eky 'emirembe
Soma : Kitaffe ali muggulu
M. Totutwaala mu kukemebwa naye tulokole mu bubi . Amiina.
B. Ku miryango ggya geyena , sumulula emyoyo Ayi Mukama
M. Bawe ekiwumulo eky'emirembe . Amiina
B. Ayi Mukama wulira essaala yange , n'omulanga gwange gutuuke gy'oli.
Twegayirire:
Avi Katonda Omutonzi era Omununuzi wa bakkiriza bonna , wa emyoyo ggyabawerezabo abaafa , ekisonyiwo ky'ebibi byaabwe olw'essaala zaffe bafune ekisonyiwo nga bwe beegomba , tukisabye nga tuyita mu Yezu Kristu Mukama waffe . Amiina
Avi Katonda ggwe Omugabi w'ekisonyiwo era omwagazi wokulokoka kw'emyoyo gy'abantu , tuwe ku Iwabaganda baffe , enganda zaffe nabo abatuyambako abatufaako nga Nnyaffe Maria abasabira , wamu n'essaala z'abatuukirivu bonna , obaanirize mu ssanyu eritaggwaawo mu bwakabaka bwo . Tukikusaba nga tuyita mu Yezu Kristu Mukama waffe Amiina.
Comments
Post a Comment