EKISINDE KYOKUMAKYA
MU LINNYA LYA PATRI, N’ERYA MWANA, N’ERYA MWOYO MUTUUKIRIVU, AMIINA ESSAALA EY'OKUZUUKUKA Katonda wange nkusinza, nkwewadde nzenna omulamba, nkwegayiridde olunaku olwa leero lumbeerere lulungi. Amiina. KATONDA WANGE, INDULGENSIA zonna ezisibiddwa ku ssaala ze nnaasoma leero, ne ku bikolwa bye nnaakola, ze mmanyi ne ze simanyi, zonna njagala okuzifunira ddala. AYI OMUTIMA GWA YEZU KATONDA, nkuweereza essaala n'ennaku n'essanyu n'ebikolwa byange ebya leero, nga mbiyisa eri Omutima Omutukuvu ogwa Maria omubeererevu. Ngenderera bwe ntyo okuddaabiriza ensobi zaffe, nga nneegatta naawe eyeetambirira buli kadde ku Altari, era njagala okusabira abo bonna Paapa b'atugambye okusabira omwezi guno. KATONDA WANGE, NZIKIRIZA NG'OLI WANO. Nkusinza, nkwagala n’okwagala kwonna okw’omwoyo gwange. Nkwebaza kuba wantonda n’onnunuza omwana wo gw’oyagala, n'onfuula omukristu; ate kwebaza n’enneema zonna z’ompa, na ddala, kubanga okuumye obulamu bwange mu kiro kin...