EKISINDE KYOKUMAKYA




MU LINNYA LYA PATRI, N’ERYA MWANA, N’ERYA MWOYO MUTUUKIRIVU, AMIINA

ESSAALA EY'OKUZUUKUKA
 Katonda wange nkusinza, nkwewadde nzenna omulamba, nkwegayiridde olunaku olwa leero lumbeerere lulungi. Amiina.

KATONDA WANGE, INDULGENSIA
 zonna ezisibiddwa ku ssaala ze nnaasoma leero, ne ku bikolwa bye nnaakola, ze mmanyi ne ze simanyi, zonna njagala okuzifunira ddala. 

AYI OMUTIMA GWA YEZU KATONDA, nkuweereza essaala n'ennaku n'essanyu n'ebikolwa byange ebya leero, nga mbiyisa eri Omutima Omutukuvu ogwa Maria omubeererevu. Ngenderera bwe ntyo okuddaabiriza ensobi zaffe, nga nneegatta naawe eyeetambirira buli kadde ku Altari, era njagala okusabira abo bonna Paapa b'atugambye okusabira omwezi guno.

KATONDA WANGE, NZIKIRIZA NG'OLI WANO.
Nkusinza, nkwagala n’okwagala kwonna okw’omwoyo gwange. Nkwebaza kuba wantonda n’onnunuza omwana wo gw’oyagala, n'onfuula omukristu; ate kwebaza n’enneema zonna z’ompa, na ddala, kubanga okuumye obulamu bwange mu kiro kino. 

NKWEWADDE NZENNA:
  omwoyo gwange, n’omubiri gwange, n’okulowooza kwange, n’ebigambo byange, n’ebikolwa byange, n’ennaku zange eza leero, nneegatta ne Yezu Kristu Mukama waffe okukutenda n’okukwatula nga bw’oli Omukama n’okukugatta olw’ebi byange. Saagalira ddala kukujeemera leero, naye nnyamba kuba siyinza kukola kantu kalungi ggwe nga tombedde.

KITAFFE ALI MU GGULU
 erinnya lyo litiibwe, obwakabaka bwo bujje, by’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. Tuwe leero emmere yaffe eya buli lunaku. Tusonyiwe ebibi byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatukola obubi. Totutwala mu kukembewa, naye tulokole mu bubi. Amiina. 

MIREMBE MARIA,
 ojjudde enneema, (Luka 1:28), Omukama ali naawe, waweebwa omukisa mu bakazi bonna (Luka 1:42), ne Yezu, Omwana w’enda yo, naye wa mukisa (Luka 1:42b). _Maria Omutuukirivu Nnyina Katonda (Luka 1:48); Tusabire ffe aboonoonyi, kaakano ne mu kaseera ak’okufa kwaffe. Amiina.

NZIKIRIZA KATONDA
Patri omuyinza wa buli kantu, Omutonzi w’eggulu n’ensi; ne Yezu Kristu Omwana we ali omu yekka, Mukama waffe, eyali mu lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, n’azaalibwa Biikira Maria, n’abonaabona ku mirembe gya Ponsio Pilato, n’akomerwa ku musaalaba, n’afa n’aziikibwa, n’akka emagombe. Ku lunaku olw’okusatu n’azuukira mu bafu, n'alinnya mu ggulu, atudde ku gwa ddyo ogwa Katonda Patri omuyinza wa buli kantu; alidda okulamula abantu abalamu n’abafu. 
Nzikiriza Mwoyo Mutuukirivu, n'Eklezia Katolika omutukuvu, n'okussa ekimu okw’abatuukirivu, n'ekisonyiwo eky’ebibi, n'okuzuukira okw’emibiri n’obulamu obutaggwaawo. Amiina. 

ESSAALA EY'O KUKKIRIZA
Katonda wange, nzikiriza nnyo eby'amazima byonna, Eklezia Katolika by’atuyigiriza, kubanga ggwe nnyini wabimuyigiriza. Toyinza kwerimba yadde okutulimba

ESSAALA EY'O KUSUUBIRA
Katonda wange nsuubira mu kisa kyo ne mu buyinza bwo ng’olimpa enneema yo munsi. Ate bwe nkwata ebiragiro byo, olimpa obulamu obutaggwaawo mu ggulu; kuba ggwe nnyini wabitulazaanya otuukiriza endagaano zo. 

ESSAALA EY'O KWAGALA
Katonda wange, nkwagala nnyo n’omwoyo gwange gwonna, okusinga ebintu byonna. Kubanga ggwe mulungi ennyo, omwagalirwa ddala. Ate kuba njagala abantu bonna nga bwe nneeyagala okubeera gwe. 

ESSAALA EY'O KUBONERERA
Katonda wange mmoneredde nnyo ebibi bye nnakola. Kubanga ggwe omulungi ennyo, omwagalirwa ddala. Ate kuba okyawa ekibi, nga mpeereddwa enneema yo, nkomye kuno sigenda kukujeemera. 

EKITIIBWA KIBE EKYA PATRI
n’ekya Mwana n’ekya Mwoyo Mutuukirivu. Nga bwe kyaliwo olubereberye na kaakano, na bulijjo; emirembe n’emirembe. Amiina

BIIKIRA MARIA OW'EKISA
jjukira ng'obwedda n’obwedda, tibaawuliranga nga wali oyabulidde omuntu addukira gy’oli okumukuuma ng’akuwanjagira okumuyamba, era ng'akusaba okumuwolereza. Nange nno, ayi Biikira mugole wa ba biikira, Nnyabo, nzirukidde gy’oli nga nkwesiga bwe ntyo, nzize gy'oli nneevuunise mu bigere byo, nga nkaaba olw’ebyonoono byange. Ayi Nnyina Kigambo, wulira okwegayirira kwange, ku lw’ekisa kyo ompe kye nkusaba. Amiina. 

Ayi Nabakyala omulungi owekisa nyina Katonda ataliiko bbala tukulonze olwaleero kuuma enju yaffe nga gwe ogitwaala nyaffe owekisa giwonye kawumpuli(plague corona virus etc) omuliro eraddu nekibuyaga. Gitaase ebijawukanya n'Eklezia, giwonye okuwakanya ebyeddini nokulumbibwa 
Gitaase okwayibwa ababbi n'abalabe abalala abekyejo. Nyaffe omulungi kuuma abasulamu tukuume ngatufuluma tukuume ngatuyingira tutaase tuleme okufa ekibwatukira tuwonye buli kabi nabuli kabenje tusabire eri Katonda tunywerere mukumuwereza tufe ngatuli baganzi be Amiina

BIIKIRA MARIA OMUTUUKIRIVU... N’abatuukirivu mwenna abali mu ggulu, munkuume mu lunaku luno, ne mu kaseera ak’okufa kwange. Amiina. 

Katonda waffe ggwe byonna

Mu linnya lya Patri n'erya Mwana n'erya Mwoyo Mutuukirivu. Amiina.

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU