EKISINDE KYEKIRO
Mu linnya lya Patri, n’erya Mwana, n’erya Mwoyo Mutuukirivu: Amiina
MALAYIKA WO MUKAMA YABULIRA MARIA, MARIA NABERA OLUBUTO OLWAMYOYO MUTUUKIRIVU.
Mirembe Maria
ojjude nema omukama alinawe wawebwo mukisa mubakazi bonna ne Yezu omwana owendayo naye wamukisa Maria omutukirivu nyinna katonda otusabire ffabononyi nakakano akasera akokufa kwaffe Amiina.
NZE NZUNO OMUZAANA WO MUKAMA KINKOLEBWE NGA BWOGAMBYE.
Mirembe Maria
ojjude nema mukama alinawe wawebwo mukisa mubakazi bonna ne Yezu omwana wendayo naye wamukisa Maria omutukirivu nyinna katonda tusabire ffabononyi kakano ne mukasera akokufa kwaffe Amiina. KIGAMBO NEYEFULA OMUNTU NABERA MUFFE
Mirembe Maria
ojjude nema omukama linawe wawebwo mukisa mubakazi bonna ne Yezu omwana wendayo naye wamukisa Maria omutukirivu nyinna katonda tusabire ffabononyi kakano ne mukasera ak'okukufa kwaffe Amiina.
AYI NYINNA KATONDA OMUTUKIRIVU.
Otusasire tulyoke tusanire okufuna Yezu Kristu byeyatusubiza Amiina.
TWEGAYILIRE :
Tukwegayiride mukama waffe enemayo gyiteke mumyoyo gyaffe era nga Malayika bweyatumanyisa okwefula bakristu omwanawe bwetutyo okubera okubonabonakwe no musaalaba gwe tutuke mu kitibwa ekyo kuzuukira Tukwegayiride olwokubera Kristu Mukama waffe Amiina.
KATONDA WANGE NZIKIRIZA NGA OLIWANO
Nkusinza, nkwagala n’okwagala kwonna okw’omwoyo gwange, Nkwebaza kuba wantonda n’onnunuza omwana wo gw’oyagala,N’onfuula Omukristu. Ate nkwebaza n’enneema zonna z’ompa. Naddala, kubanga okuumye obulamu bwange mu lunaku luno.
KATONDA WANGE OMPE ENNEMA.,
Ey'omanya,ey'okubonerea ebibi bye nkoze leero. (TUJUKIRE EBIBI BYAFFE EBYALEERO)
OSINZANGA KATONDA OMU YEKKA ERA OMWAGALIRANGA DDALA.
Tolayiriranga bwerere mu linnya lya Katonda, Olwongoosanga olunaku lwa Katonda, Otyanga kitaawo ne nnyoko, tottanga, toyendanga, tobbanga, olekanga okuwaayiriza n’okulimba, tewegombanga mukazi wa bandi, tewegombanga bintu bya bandi.
TUDABIRIZE OMUTIMA GWA YEZU, OGWASOGWA EFUMU OLWE BIBI BYAFFE.
ESSAALA EY'OKUBONERERA
Katonda wange mboneredde nnyo, ebibi bye nnakola. Kubanga ggwe mulungi ennyo, omwagalirwa ddala. Ate kuba okyawa ekibi, nga mpeereddwa enneema yo, nkomye kuno sigenda kukujeemera.
KATONDA GWE OMULUNGI ENNYO
Wa omukisa mu Eklezia wo, n’abantu ab’ensi eno, ne baganda bange, ne mikwano gyange, n’abatanjagala. Kuuma bulungi bakulu bange ab’eddiini, n’abensi. Kyuusa emyoyo gy’abantu abatakukkiriza, komyawo abavudde mu Eklezia wo, juna abaavu, n’abasibe, n’abalwadde, n’abazirika, sonyiwa emyoyo egiri mu puligatori, Ompe ekiro ekirungi, n’enneema ey’okufa nga nkwagala.
KITAFFE ALI MU GGULU (MATAYO 6:9-13)
Kitaffe ali Mu ggulu, erinnya lyo litiibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu Ggulu. Tuwe leero emmere yaffe eya buli lunaku. Tusonyiwe ebibi byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatukola obubi. Totutwala mu kukembewa, naye tulokole mu bubi: Amiina.
MIREMBE MARIA
Mirembe Maria, Ojjudde enneema (Luka 1:28), wawebwa omukisa mu bakazi bonna (Luka 1:42), Ne Yezu Omwana w’enda yo Wa Mukisa (Luka 1:42b). Maria Omutuukirivu Nnyina Katonda (Luka 1:48); Tusabire ffe abononyi, kaakano ne Mukaseera ak’okukufa kwaffe:(Luka 2:35 &John 2:5) Amiina.
NZIKIRIZA KATONDA
Nzikiriza Katonda: Patri Omuyinza wa buli kantu. Omutonzi w’eggulu n’ensi. Ne Yezu Omwana we omu yekka Mukama waffe. Eyagwa mu lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, n’azaalibwa Biikira Maria, n’abonabona ku mirembe gya Ponsio Pilato, n’akomerwa ku musaalaba, n’afa n’aziikibwa, n’akka emagombe. Ku lunaku olw’okusatu n’azuukira mu bafu, nalinnya mu Ggulu atudde ku gwa ddyo ogwa Katonda Patri Omuyinza wa buli kantu, alidda okulamula abantu abalamu n’abafu.
Nzikiriza Mwoyo Mutuukirivu, Elkezia Katolika Omutukuvu, Okussa ekimu okw’abatuukirizi, ekisonyiwo eky’ebibi, okuzuukira okw’emibiri n’obulamu obutaggwawo; Amiina.
ESSAALA EYO KUKIRIZA
Katonda wange nzikirizza nnyo, ebyamazima byonna, Eklezia Katolika by’atuyigiriza. Kubanga ggwe nnyini wabimuyigiriza. Toyinza kwerimba, yadde okutulimba
ESSAALA EYO KUSUUBIRA
Katonda wange nsuubira mu kisa kyo.. ng’olimpa enneema yo munsi. Ate bwe nkwata ebiragiro byo, olimpa obulamu obutaggwawo mu ggulu, kuba ggwe nnyini wabitulazaanya. Otuukiriza endagaano zo.
ESSAALA EYO KWAGALA
Katonda wange nkwagala nnyo n’omwoyo gwange gwonna, Okusinga ebintu byonna. Kubanga ggwe mulungi ennyo, omwagalirwa ddala. Ate njagala abantu bonna nga bwe neyagala okubeera gwe. Amiina
EKITIIBWA KIBE EKYA PATRI
N'ekya Mwana, n'ekya Mwoyo Mutuukirivu. Nga bwekyaliwo olubereberye, ne kaakano ne bulijjo, emirembe n'emirembe, Amiina.
BIIKIRA MARIA OWEKISA.
jjukiranga nti obwedda n’obwedda, tebawuliranga nti wali oyabulidde omuntu addukira gy’oli ng’akuwanjagira okumuyamba era ng'akusaba okumuwolereza. Nange no, Ayi Biikira mugole ba Biikira, Nnyabo, nzirukidde gy’oli nga nkaaba olw’ebyonono byange. Ayi Nnyina wa Kigambo, wulira okwegayirira kwange, ku lw’ekisa kyo, Ompe ky’enkusaba; Amiina.
AYI MARIA EYAGWA MUNDA NGA TOLIMU KIBI KISIKIRE .... Tusabire ffabadukira jjoli.
ESSAALA EYO KUSABA OBUTUKUVU ... Yozefu omutuukirivu, omukuumi w’ababeererevu era kitaabwe. Olw’okubeera obwesige bwo obutaddirira, Katonda yakukwasa obutukuvu bwennyini. Ye Yezu Kristu. N’akukwasa ne Maria, Nnyina wababiikira. Olw’okubeera abeesigwa abo bombi,
*“Yezu ne Maria”* abakulembera ebyagalwa byonna, tukwegayiridde nga tukwesengereza, tuwonye buli kigwagwa kyonna, ate otuwe okubeera n’emmeeme etaliiko kamogo, n’omwoyo omulongofu, n’omubiri omutukuvu, ndyoke mpeereze Yezu ne Maria nga ndi Mutukuvu ddala.
ESSAALA BIKIRA MARIA GYATESAMULA : Ayi Maria Kabaka wange mange nze neyanjula jooli nga silina kyendekayo era nkusingira omusingo gwokwagala kwange nkusitulira leero amaaso gange, na mattu gange, nakamwa kange, nomyoyo gwange, Nange nkwekwasa nzenna omulamba ayi mange omulungi nga bwenelimbise ku gwe nawe nkuuma nzibira ngomuddu wo owuwo kububwo Amiina
ESAKRAMENTU ETUKUVENYO ELIWANUKIRA DAALA MUGULU TULITENDE BULI KISEERA TULYEBAZZE OBUTATA.
Yezu, Maria, Yozefu,... Mbawade omutima gwange no myoyo gwange, no mubiri gwange.
Yezu, Maria, Yozefu ,..... Munsulanga omukono mu kaseera akoluvanyuma okokuzirika kwange.
Yezu, Maria, Yozefu. Nkutuke mpola nga mundi kumpi okusanyusa.
Yezu omuteefu; omwetowazze mumwoyo fula omutima gwange ngo gugwo Amiina.
Katonda waffe.......gwe byonna.
ESSAALA EYO KUKIRIZZA OKUFFA OBULUNGI...
Ayi mukama katonda wange nzikiriza okuva leero nabuli ngeri yonna eyo kuffa gyo njagalizza nffemu enffeyo ngisiima awamu no bubalagaze no bulumi bwayo bwonna ebyo mbikirizza nga siwalira Kuba biva mumikono gyo Amiina
ESSAALA EYO KWESINGIRA BIKIRA MARIA.
Bikira Maria mange nkukwasiza omyoyo gwange nkwegayiride ogumpere Yezu omwana wo mu tabenakuro Amiina.
Essala ya mikayiri omukukirivu sabamalayika
Ayi Mikayili omutukirivu sssabamalayika tuzibire mulutalo lwetulwanamu namasitani, tuyambe okuwona emitego gya sitani owettima, tukusaba nga tukwesengereza Katonda amufuge era nawe omugobi wejje ely'omugulu , sitani oyo ne bamalayika be abasasanidde wona mu nsi okuzikiriza emyoyo gy'a bantu ku lwo buyinza bwa Katonda bazilikize mu Muliro Ogutazikila. Amiina🙏
ESSAALA YA NABAKYALA NNYINA KATONDA OMULUNGI ATALIKO BALA
Ayi Nnyina Katonda omulungi tukulonze olwa leero okuume enjju eno nga gwe ajitwala , giwonye kawumpuli, omulilo , laddu, kibuyaga, nabalabe bonna abekyejjo,
Ayi mange omulungi, kuuma abajisulamu, tukuume nga tufuluma, tukuume nga tuyingila tutalize teleme kuffa kibwatukila, tuwonye buli kabi nabuli kabenjje, tusabire eli Katonda tunywele mu mukumuweleza , tuffe nga tuli baganzibe. Amiina.🙏
Essala eyokugenda okwebaka
Katonda wange nkwegayiride ekiwumulo kyange kye nggenda okuwumula kimbelele kilungi mu mwoyo gwange n'e mumubili gwange, Maria omubererevu omutukirivu nawe malayika wange omukuumi na Abatuukirivu bonna abali mu ggulu mu nkuume mu kilo kiino, ne mukasela ako kuffa kwange. Amiina 🙏
Ayi omutima gwa yezu omutukuvu daala...
Otusasire x2
omutima gwa bikira Maria ogutaliko bala.........Otusabire.x2
Katonda waffe obude
buwungedde bera naffe naffe tubere nawe ne ssaala zaffe ozisime era oziwe omukissa. Amiina
Malayika wange Omukuumi....... Ngobako sitani
Mu linnya lya Patri, n’erya Mwana, n’erya Mwoyo Mutuukirivu:
Amiina.
Comments
Post a Comment