ESSALA Y OKWESINGIRA OMUTIMA GWA YEZU



 Ayi Yezu wange omwagalwa ennyo,nziramu okwesingira omutima gwo omutukuvu ddala nga sirina kye nneerekera.Nkusingira omubiri gwange,n'abyonna bye gulina,n'omwoyo gwangwe n'ebyagwo byonna, kangambire wamu nti nkwesingira nzenna mulamba:Nkusingira ebirowoozo byange,byonna, n 'ebigambo byange byonna,n'ennaku zange,n'ebinteganya byonna, ne

 byensubira,n'ebinkubagizza,n'ebindetera essanyu,n'ebineralikirizza, n'obuvunanyizibwa bwange wamu n'obuwerezza bwange era naddala nkusingira omutima gwange gunno ogutalina bwe gguli, nga kye njagala bwe butabaako kirala kyonna kye njagala kusinga Ggwe,era njagala gwemalire ddala ku kukwagala.

 Nkwesingira obutaddirira era ku lw'ekisa kyo nsubira okusonyiyibwa ebibbi byange.Byonna ebineralikirizza mbitadde mu mutima ggwo ,naddala kino eky'okulokoka kwange. Nkusubizza okukwagalanga n'okukussangamu ennyo ekitiibwa okutuusa akaseera kange akavanyuma.Era nkusuubizza nga nkyali mulamu nti nnagezangaako nnyo okubunya okwagala okw'esingira omutima gwo,

 Ayi Yezu wange,kkola nga bw'oyagala,tewali mpeera n'emu gye ndubirira ng'okulaba ng'oweebwa ekitiibwa era ng'oyagalwa, Kkirizza oku kwesingira kwange kuno ompe n'ekifo eky'oluberera mu mutima gwo omutukuvu.AMIINA

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU