Posts

Showing posts from August, 2023

ESSAALA EYOKUSABA OKUFUNA OBUFUMBO OBUTUKUVU NGA TUYITA MU YUDA TADEO OMUTUMIRIVU

Image
 Ayi YudaTadeo omutukirivu omwagazi w'obufumbo obutukuvu, nzinze gy'oli nga nkwesiga njagala onsabire nneme kupapa oba okubugutana mukuzula omubezi wange, wabula ggwe nkulembera ngo munddaga awatali kubusabusa, omanyi obufumbo nga webuli obwoluberera era ngo manyi obufumbo webuli essakalmentu. Awo no nsabira ennema ntangale neeme  kukola nsobi mukulonda omubezi wange, ndagga oyo ansanira, ammanyi katonda, omugezi, omubererevu omuntu mulamu era nga mwegenddereza atanveko munaku ne mubulwadde. yudaTadeo omutukirivu nsabira nange nerongose mumpissa zange okubeera mu Katonda ne munange ggwolinkwassa;. Amiina

NOVENA YA MAMA MARIA NGA ATWALIBWA MU GGULU

Image
Starting on 6th August to 14th August EBIKOLWA EBYE KITIIBWA OMULAMWA Mukama waffe Yezu Kristu Yeetowaza n'awulira Kitaawe okutuusa okufa mu nsonyi ku Musaalaba. Ne Katonda kye yava amugulumiza ng'amuzuukiza. Naffe bwe tweyisa tutyo, tuli ba kumufaanana. Biikira Maria ye musaale.  1. Yezu Kristu azuukira mu bafu; Bikira Maria otunyweze mu ddiini (Mk 16:5-8). 2. Yezu Kristu alinnya mu ggulu; Bikira Maria otwongere esuubi ery'okulokoka(Lk 24:50-53). 3. Yezu Kristu asindika Mwoyo Mutuukirivu bu Batumebe; Bikira Maria otwagaze Mwoyo Mutuukirivu ne by'atuleetera (Ebik 1: 9-11). 4. Bikira Maria atwalibwaa mu ggulu; Bikira Maria tumusanyukire (Nnono ne Okubbikk 12:1). 5. Bikira Maria alya mu Ggulu obukulu obutasingika; Bikira Maria otusabire okufa obulungi otutikkize engule ey'ekitiibwa (Nnono ne Okubbikk 3:21) SALVE REGINA . Mirembe Ayi Kabaka Omukyaala, Nnyaffe ow’ekisa, bulamu bwaffe, ssanyu lyaffe, ssuubi lyaffe mirembe. Tukukowola gy’oli ffe abaana abagobe...

NOVENA EYOMUSAYI GWA YEZU.

Image
          Mu maanyi ago musayigwo ayi mukama yezu nkukoowora nkulajanira nkwesengereza wadde nga gwe kirabika nga atawulira kulajana kwange naye nze sija kuva wansi wabigerebyo nawansi womusaalabagwo awatonya omusayigwo okutuka nga owulidde noyanukula okuwanjaga kwange enneema emirembe nobusaasizi bingi ebisibuka mu musayi ogwo muwendo ennyo era mwenjija essuubi elyobuwanguzi. Ayi yezu olwokubera omusayigwo ogwomuwendo ennyo ogwayiika okutununula olwokubera amaziga amatukuvu agomuzadde Maria omubeererevu nkwegayiridde wulira okuwanjaga kwange musala eno. *(Yanjula ebyetago byo)*  Ayi yezu mubisera byewamara kunsi ngokyaali mumubiri wakubagizanga nnyo abali babona bona nabalumwa wawonyanga endwadde wazamu bangi amanyi nesubi mubaali baterebuse manyi bulungi nti mukisakyo ekitakoma tojja kugana kunkwatira kisa kitange nze akulajanira mukiwonvu kino ekyamaziga nenaku ssebo . Nedda ssebo toyinza kundeka nga tonyambye!wamu nebensabira mukama wulira o...

ESAALA YA ANTONIO OMUTUKIRIVU OWE PADUA

Image
     Nkulamusiza no mutima Gwange gwonna  Nkulamusa Emirundi lukumi  Ayi Antonio   Omutukirivu   Oli kibya kirondemu omuli eneema ya katonda  YEZU ali nawe, oliwa mukisa ngomwana wa  Fransinsko omutukirivu omuserafi ,jukira, Ayi omutukirivu owebyewunyo ebingi nti tolekayo kuyamba na nakukubagiza aba akusabye nga ali mubwetavu, nganzijudde amaanyi ne suubi nti segayiririra bwerere ,nkusaba gwe, omuganzi muneema ate ngoli, muganzi ewo mwana Yezu   Ayi Antonio Omutukirivu , Omutukirivu owebyewunyo, Omutukirivu owobuyambi, nange ndi mu bwetavu nyamba mubyetago byange ............(kyogere)...... Kale nno nkubagiza mubyetago byange ompe obuyambi nga bwe nkwesiga  Nsubiza okukuwayo akantu okugulira abanaku bbo omugaati  Mpa omukisa Ayi omutukirivu omutiibwa.........mulinya lya patri ne mwana ne mwoyo mutukirivu...... Amiina...... Ayi owomukwano Antonio  Omutukirivu   batera o...