ESAALA YA ANTONIO OMUTUKIRIVU OWE PADUA
Nkulamusiza no mutima Gwange gwonna
Nkulamusa Emirundi lukumi
Ayi Antonio Omutukirivu
Oli kibya kirondemu omuli eneema ya katonda
YEZU ali nawe, oliwa mukisa ngomwana wa
Fransinsko omutukirivu omuserafi ,jukira, Ayi omutukirivu owebyewunyo ebingi nti tolekayo kuyamba na nakukubagiza aba akusabye nga ali mubwetavu, nganzijudde amaanyi ne suubi nti segayiririra bwerere ,nkusaba gwe, omuganzi muneema ate ngoli, muganzi ewo mwana Yezu
Ayi Antonio Omutukirivu, Omutukirivu owebyewunyo, Omutukirivu owobuyambi, nange ndi mu bwetavu nyamba mubyetago byange............(kyogere)......
Kale nno nkubagiza mubyetago byange ompe obuyambi nga bwe nkwesiga
Nsubiza okukuwayo akantu okugulira abanaku bbo omugaati
Mpa omukisa Ayi omutukirivu omutiibwa.........mulinya lya patri ne mwana ne mwoyo mutukirivu......Amiina......
Ayi owomukwano Antonio
Omutukirivu
batera okukuyita omutukirivu owe padua, naye nga osanira okuba omutukirivu owe nsi yoona kubanga ensi yoona ekusaba nekuyita owo mukisa
Kkiriza okukwewongera, ontwale mubulabirizibwo,Ggwe eyawerezanga Yezu omuto, muleete adde mu mutima gwange mwe mbadde ntera okumugoba olwe ebibi byange
Nfunira eneema gyenetaga okumukuma bulijjo mumutima gwange
Ate naddala eneema, eyo munywererako enaku zonna
Kitaffe....
Mirembe maria.....
Ekitiibwa kibe....
Comments
Post a Comment