NOVENA YA MAMA MARIA NGA ATWALIBWA MU GGULU
Starting on 6th August to 14th August
EBIKOLWA EBYE KITIIBWA
OMULAMWA
Mukama waffe Yezu Kristu Yeetowaza n'awulira Kitaawe okutuusa okufa mu nsonyi ku Musaalaba. Ne Katonda kye yava amugulumiza ng'amuzuukiza. Naffe bwe tweyisa tutyo, tuli ba kumufaanana. Biikira Maria ye musaale.
1. Yezu Kristu azuukira mu bafu;
Bikira Maria otunyweze mu ddiini (Mk 16:5-8).
2. Yezu Kristu alinnya mu ggulu;
Bikira Maria otwongere esuubi ery'okulokoka(Lk 24:50-53).
3. Yezu Kristu asindika Mwoyo Mutuukirivu bu Batumebe;
Bikira Maria otwagaze Mwoyo Mutuukirivu ne by'atuleetera (Ebik 1: 9-11).
4. Bikira Maria atwalibwaa mu ggulu;
Bikira Maria tumusanyukire (Nnono ne Okubbikk 12:1).
5. Bikira Maria alya mu Ggulu obukulu obutasingika;
Bikira Maria otusabire okufa obulungi otutikkize engule ey'ekitiibwa (Nnono ne Okubbikk 3:21)
SALVE REGINA.
Mirembe Ayi Kabaka Omukyaala, Nnyaffe ow’ekisa, bulamu bwaffe, ssanyu lyaffe, ssuubi lyaffe mirembe. Tukukowola gy’oli ffe abaana abagobe aba Eva, tukusindira nga tukaaba nga tukuba ekiwobe mu kiwonvu kino eky’amaziga. Ayi omuwolereza waffe, amaaso go ag’ekisa gasimbe kuffe, wamu ne Yezu Omwana w’endayo ow’omukisa omutulaganga nga tuvudde mu kiddukiro kino. Ayi omusaasizi, ayi ow’ekisa, ayi Bikira Maria omuteefu.
Amiina
AMATENDO GA NNYAFFE BIKIRA MARIA
Ayi Mukama tusaasire, ×2
Ayi Kristu Tusaasire, ×2
Ayi Mukama Tusaasire, ×2
Ayi Kristu tuwulire ×2
Ayi Kristu tuwe ×2
Patri ow'omu ggulu Katonda........ #Otusaasire
Mwana omununuzi w'ensi Katonda,
Mwoyo Mutuukirivu Katonda,
Trinita Omutuukirivu Katonda Omu,
Maria Omutuukirivu,....... #Otusabire
Omuzadde Omutuukirivu owa Katonda,
Omubeererevu Omutuukirivu Mugole w'ababeererevu,
Nnyina Yezu Kristu,
Nnyina w'enneema ya Katonda,
Omuzadde omutukuvu ddala,
Omuzadde omwekuumi ddala,
Omuzadde eyaba olubuto n'atayonooneka,
Omuzadde eya zzala n'atayonooneka,
Omuzadde asaanidde okwagalwa,
Omuzadde omulungi ennyo eyeewunyizibwa,
Omuzadde omubuulirizi omulungi,
Nnyina Omutonzi,
Nnyina Omulokozi,
Omubeererevu omwegendereza ennyo,
Omubeererevu omutiibwa,
Omubeererevu ataggwa matenda,
Omubeererevu omuyinza,
Omubeererevu omusaasizi,
Omubeererevu omwesigwa,
Ndabirwamu erabirwamu obutuukirivu,
Kitebe ky'amagezi,
Nsibuko y'essanyu lyaffe,
Nkuluze ey'ebirungi eby'omwoyo,
Nkuluze ey'ekitiibwa,
Nkuluze ennungi ennyo ey'obujjumbizi bw'eddiini,
Roza etetegeerekeka,
Munaala Gwa Daudi,
Munaala Gwe'essanga,
Nnyumba ya zawabu,
Ssanduuku y'endagaano,
Wankaaki w'eggulu,
Mmunyeenye ya ku makya,
Bulamu bw'abalwadde,
Kiddukiro ky'abonoonyi,
Mukubagiza w'abanaku,
Mubeezi w'abakristu,
Kabaka wa Bamalayika,
Kabaka wa Bajjajja,
Kabaka w'Abalanzi,
Kabaka w'Abatume,
Kabaka w'Abajulizi,
Kabaka w'Abannyiikivu,
Kabaka w'Ababeererevu,
Kabaka w'Abatuukirivu bonna,
Kabaka eyagwa munda nga toliimu kibi kisikire,
Kabaka eyatwalibwa mu ggulu,
Kabaka wa Rozaari entukuvu ddala,
Kabaka ow'emirembe,
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi, #tusonyiwe ayi Mukama.
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi, #tuwe ayi Mukama.
Kaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by'ensi, #tusaasire.
V/Ayi nnyina Katonda Omutuukirivu tusabire,
R/Tulyoke tusaanire okufuna Yezu Kristu bye yatusuubiza.
TWEGAYIRIRE
Ati Katonda, tukwegayirira ffe abaweereza bo, tuwe okubeera abalamu bulijjo mu mwoyo ne mu mubiri ate ku lw'okusabira Maria omubeererevu, Omutuukirivu, tuwonye ennaku ez'omu nsi muno, tufunyise mu ggulu essanyu eritaggwawo.
Tukikusaba nga tuyita mu Kristu oyo Mukama waffe... AMIINA
OKWESINGIRA NNYAFFE BIKIRA MARIA
Ayi Nnyabo Namasole oweggulu nzuuno neeyaze mu maaso go nga neesingira omutima gw'omwana wo Yezu Kristu.
Sirina bwedi anti ndi mwononyi asanira omuliro.
Naye nzuuno nzize gy'oli gwe omuzadde ow'ekissa eyatunulira omwana wo ng'afiirira abonoonyi, nzuuno nange ntunulira n'eriiso lyo ery'ekissa okkirize bye nkunjulira era obintuusize ku namulondo y'omwana wo Yezu Kristu.
( ekyetaago kyo).
Nkukwasiza Omwoyo Gwange, onkuume anti ewuwo Gye nsubira eneemazo,
Nze ndi munafu era ngwa mangu, naye ng'ompaniridde sigya kugwa.
Sitaani njakumuwangula ne bikemo bye njakubigoba.
Nnyabo gwe ssuubi lyange era ekiddukiro kyange Sirina kyenantya nga ndinawe.
Nkukwasiza omubiri gwange n'ebyange byonna obirabirire nga bwe walabilira omwana wo Yezu n'omuyisa mu buli kabi konna.
Nange netadde mu mikono gyo byenina bikuume bilabirirenga omponye abazigu aba buli ngeri.
Nnyongera ekyengera mu mirimo gyange ompe obugagga obw'omwoyo n'omubiri.
Nnyongera ensimbi nsobole okuliisa omukama beyampa, okusasula byenteekwa okusasula.
Bwentyo mbunye obwakabaka bw'omwana wo mu nsi yonna.
Nnyabo omutibwa, ensi yakukwasibwa ebeere mu mikono gyo, kuuma abo abagilimu ba nyweze okukkiriza okulamu bagale nyo omwana wo nga ba nyweza okwagalana nga bokka nabokka.
Yamba abaavu baleme kuterebuka, Abanaku bakubagizenga bafune ababaddukirira.
Abalwadde beera ekikubagizo kyabwe, Abafumbo nabo banyweze mu kwagalana nga bafuna bulungi Ukaristia.
Abaana bakuume obawonye emitego gya sitaani, Abavubuka baffe bawe omutima omukakamu bagale Katonda ate bangi beewe Katonda mu mbera y'obunaddini.
Abavubuka era bagale nnyo matrimunyo.
Abewagulidde mu bufumbo obwensonga basabire eneema eli omwana wo Yezu ensonga ezo baziveemu.
Ziyiza obukafiiri, obuwemu n'okwesiga sitaani bwetutyo ffenna, Nnyaffe tukulembere otutuuse mu ggulu twesiime n'omwana wo Oyo alamula ne patri ne Mwoyo Mutuukirivu emirembe n'emirembe.. AMIINA
Mu linnya lya Patri n'erya Mwana n'erya Mwoyo Mutuukirivu Amiina.
Comments
Post a Comment