NOVENA EYOMUSAYI GWA YEZU.
Mu maanyi ago musayigwo ayi mukama yezu nkukoowora nkulajanira nkwesengereza wadde nga gwe kirabika nga atawulira kulajana kwange naye nze sija kuva wansi wabigerebyo nawansi womusaalabagwo awatonya omusayigwo okutuka nga owulidde noyanukula okuwanjaga kwange enneema emirembe nobusaasizi bingi ebisibuka mu musayi ogwo muwendo ennyo era mwenjija essuubi elyobuwanguzi.
Ayi yezu olwokubera omusayigwo ogwomuwendo ennyo ogwayiika okutununula olwokubera amaziga amatukuvu agomuzadde Maria omubeererevu nkwegayiridde wulira okuwanjaga kwange musala eno. *(Yanjula ebyetago byo)*
Ayi yezu mubisera byewamara kunsi ngokyaali mumubiri wakubagizanga nnyo abali babona bona nabalumwa wawonyanga endwadde wazamu bangi amanyi nesubi mubaali baterebuse manyi bulungi nti mukisakyo ekitakoma tojja kugana kunkwatira kisa kitange nze akulajanira mukiwonvu kino ekyamaziga nenaku ssebo .
Nedda ssebo toyinza kundeka nga tonyambye!wamu nebensabira mukama wulira okuwanjaga okuva kuntobo yomutima gwange kusisinkane obusaasizibwo nenneema mu musaayi gwo oguva mukiwundu kyokumutima gwo olwo ndyoke nfune enneema gyenettanira enyo,ayi yezu! Yezu wange omulungi nkwegayiridde fuula amaziga gange essanyu ,okusaba kwange ekitibwa,nokuwanjaga kwange kufule okwebaza kitange!
Maria omutukirivu ensibuko yomusayi omutukuvu ogwomuwendo ennyo nkwegayiridde nsabira ebyetago byange mbifuune nsobore okugulumiza omusayi ogwo muwendo ennyo ogwakufula omubeererevu.omusaayi gwa yezu ogujudde obukumi gunkume.x3 Amiina. Yezu tukusaba buwanguzi musaala yaffe eno kitange.
Comments
Post a Comment