ESSALA YA NOVENA ERI PADRE PIO:( Bonna bafukamira )

 Ayi Padre Pio Omutukirivu , ggwe mukuumi era omuwolereza omwesigwa ow'abo bonna abakwagala era abakussaamu ekitiibwa . Nkwesigira ddala era neesiga n'obukozi bwo obw'ebyewuunnyo.Obuyinza bwo obulina ku lwa Katonda era bw'otyo toliyinza kulekerera bagobeerezi bo abakwesiga . Nsitulidde omutima gwange gy'oli nga nkusaba ompolereze n'obuyinza bwo bw'olina . Nsabira eri Katonda nfune kye neetaaga . ( Kyosaba kyogere , oba soma ebyetaago ) Olw'okuba oli wakisa eri aboonoonyi , totunuliira nga bwe sisaanidde wabula fa ku kitiibwa kye nnaayongera okuwa Katonda nga mpita mu ggwe olw'okumpa kye nkusaba kaakano .
( Soma Kitaffe ... Mirembe Maria ... Ekitiibwa ... ) Ayi Padre Pio Omutukirivu , Omukubagiza w'abali mu bulumi nkusaba onnyambe . Watuddukirira n'okwagaala okutagambika era n'otukubagiza awatali kwerekereza Nkwebaaza n'okwebaza n'omutima gwange gwonna . ( Soma Kitaffe ... , Mirembe Maria . , Ekitiibwa ... ) Kiriza ekirabo kyange kino eky'okukwemaliza nga nkwagala era kwentadde nga n'obweyamo bwange obutaliimu bukuusa , bwe nziza obuggya , nga bulijjo ndi wa kwagala nga Katonda ne bannange . Yongera okuntaasanga n'ekisa kyo bulijjo era onfunire enneema ey'okweyongeranga okuba oyo atuukiridde afunanga okusaasira kwa Katonda okutaggwawo . ( Soma Kitaffe ... , Mirembe Maria . , Ekitiibwa ... )

Comments

Popular posts from this blog

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU