Posts

ESSAALA EYO KUSABIRA EMYOYO EGYIRI MU PULIGATORI

Image
 _N:B; Tukozesa sappule eyabulijo, era awagenda ekikolwa somawo ( Ayi Kitaffe ataggwawo..... ) ate kumirembe Maria 10 somawo ( Ayi omukama bawe ekiwumulo ekyemirembe........ )_ Mulinya Lya Patra ne rya mwana ne rya mwoyo mutukirivu....Amiina....🙏🙏🙏 Netondera katonda patri omuyinza wabuli kantu...... (Ssawo emyoyo ejili MU purgatory mumitendera..........) Nzikiliza katonda........ Kitaffe Ali mugulu........ Mirembe Maria....... ..×3 Ayi kitaffe atagwawo,tukuweleza omusayi ogwo muwendo ennyo ogwo mwanawo Yezu kristu,awamu Ne bitambilo bye misa ezinasomwa leero munsi Yona kulwe myoyo ejili mu puligatori,abononyi abali munsi yonna,Ne mwe kelezia katolika, abomunyumba yaffe Ne mumaka gaffe           Amiina. 🙏🙏🙏 Ayi mukama bawe ekiwumulo ekye mirembe Ne kitangal...... ×10      Ayi kitaffe atagwawo.............

ESSAALA EY'OKUSABIRA ABASASERDOOTI

Image
Ayi katonda omuyinza wa buli kantu, ataggwaawo, tunuuliza ekisa amaaso ga Kristu wo, Omusaserdooti omukulu ow'emirembe gyonna. Olw'okwagala kw'omwagalamu, abasaserdooti bo bakwatirwe ekisa! Jjukira nti nabo bantu: banafu, bibya bya bbumba. Banyweezeemu omuliro gw'okwagala kwo gubugujje awatali kusalawo. Bakuumire awo ku lusegere, omulabe abuleko w'abayita okubawangula n'okubatuusa ku butakyasaanira kuyitibwa kwabwe okw'ekitiibwa. Ayi Yezu, nsabira abasaserdooti bo abeesigwa era abalumirwa ennyo emyoyo, abasaserdooti bo abaddiridde n'abatakyali beesigwa, abasaserdooti bo abali okumpi n'abakolera mu nsi ez'ewala, abasaserdooti bo abatawaanyizibwa ebikemo, abasaserdooti bo abawulira nti baabuliddwa, buli omu asigadde kululwe, abasaserdooti bo abato, abasaserdooti bo abakadde, abasaserdooti bo abalwadde, abasaserdooti bo bali mu kaseera ak'okufa. Nsabira emyoyo gy'abasaserdooti bo egiri mu purigatori. Mu ngeri ey'enjawulo nku...

NOVENA YA MALINNYA GA YEZU KRISTU MUGGULU

Image
  Mulinnya elya Patri ne ly'Omwana ne ly'Omwoyo Omutukirivu. Amiina  Kitaffe Ali mugulu  Mirembe Maria  Nzikiriza Katonda   OLUNAKU OLUSOOKA    Ayi Yezu omwagalwa,tukwebaza era tukutendereza olw'ekyamagero ky'okulinnya kwo mu ggulu. Tukusaba, Mukama omwagalwa, obeere naffe bulijjo!  Walabikira Abatume bo n'Abayigirizwa abalala nga wayisewo ennaku amakumi ana oluvannyuma lw'okuzuukira mu bafu.Wabalambika ku bintu bingi nga bwe wabategeka okukulembeera Ekeleziya wo mu myaka egyajja.Wababuulira amawulire ag'essanyu agakwata ku kujja kw'Omwoyo Omutukuvu  , ng’a obagamba nti Omwoyo Omutukuvu yandibajjira oluvannyuma lw’okulinnya kwo mu ggulu. Tukusaba otuyambe tusobole naffe okusigala nga tuli kumpi naawe bulijjo, era naddala tukusaba leero otuyambe n'abantu bonna okukula mu ssanyu Ettukuvu!  Tuyambe tusobole okuwaayo obulamu bwaffe mu bujjuvu gyoli buli lunaku.Tuwe ekisa tusobole okusigala mu mukwano gwo okutuusa okuffa.Era neki...

SSAAPULE YA MWOYO MUTUKILIVU

Image
Mulinnya lya Patri ne lya mwana ne lya mwoyo mutukilivu, amiina.   ESSAALA EYO KWENENNYA EBIBI BYO ERI MWOYO MUTUKILIVU Ayi katonda wange, nsonnyiwa n'omutima gwange olw'okukunyiiza. Nkyawa ebibi byange byonna kubanga ntya okufiirwa Eggulu,Kuba mugeyeena eliyo obulumi bungyi , naye okusinga byonna kubanga bikunyiiza, Katonda wange, Gwebyonna ebirungi, era osanidde okwagala kwange kwonna. Nsalawo nnyo nga nnyabibwako ekisa kyo, obutaddamu Kwonoona era okwewala emikolo egy'okumpi egy'ekibi, Amiina   JANGU AYI MWOYO MUTUKILIVU Jjangu, ayi mwoyo mutukilivu ojjuze omutima gwange ebirabo byo ebitukuvu. Obunafu bwange buyingire n'amaanyi go leelo lwennyini nsobole okutukiriza emirimu gyonna egy'embeera yange n'omuntu ow'omunda, nkole ekituffu era eky'obwekanya.         Okusaasira kwange kubeere nga tekunyiiza muntu yenna,nobutalumya muntu yenna:Omugambi ennyo nga nsonyiwa mu bwesimbu ekibi kyonna ekinkoleddwako. Nnyamba, ayi mwoyo mutukilivu, mu...

SSAPPULE YA MIKAYIRI OMUTUUKIRIVU SSABAMALAYIKA

Image
              Olunaku olumu, Mikayiri omutukirivu yalabikira Antonio owe Asitonaka, omuwereza wa Katonda omwesigwa namugamba nti yegomba nyo essaala eno eyokumulamusa emirundi mwenda etuukagana ne kwaaya omwenda ezaba Malayika. Erimu   Kitaffe ali muggulu ×1  Mirembe Maria ×3  nga zino za kugulumiza kwaya ya ba Malaika. EBISUUBIZO BYA MIKAYIRI OMUT. Buli anajjumbiranga essaala eno, nga tanafuna kumunio, ajja kuwerekerwangako ba Malaika 9 abalondeddwa okuva mu buli kwaya 9. N'ekirala, buli bonna abanagisomanga buli lunaku yabasuubiza obuyambibwe, nobwaba Malaika mu bulamu buno, ate nokubaggya mu Puligatooli oluvanyuma lwokufa era n'abaabwe. Somanga bulungi essaala.   Eyokubonerera..... Nzikiriza katonda patri....  Era n'essaala eno eyokusomeranga ku mudaali: Ayi Katonda jangu onnyambe, Ayi Mukama tolwaawo kunziruukirira Ekitiibwa...  1. Ayi Mikayiri omut. Ssabamalayika tuwolereze awamu ne choir ya Baserafiini ab...

AMATENDO G'OKUBONABONA KWA MUKAMA WAFFE

Image
Ayi Mukama tusaasire ---- x2 Ayi Kristu tusaasire -x2  Ayi Mukama tusaasire-x2 Ayi Kristu tuwulire  Ayi Kristu tuwe YEZU KRISTU .     Eyanakuwala n'okaaba n'ojugumira wenna, n'otaagula ennaku empitirivu ennyo ng'otunuulira ebibiina by'abantu abalizikirira yadde ng ogenda okuyiwa Omusaayi gwo..... ..... Tusonyiwe Ayi Mukama YEZU KRISTU .             Eyayiwa omusaayi mu bulumi obuyitirivu Omulundi ogwasooka ng'otayirirwa...... YEZU KRISTU .     Eyalumwa ennyo ng'omutume wo Yuda Iscariota akulyaamu olukwe N'olengera ebibiina by'abantu nga bajja Okukukwata.....,.. YEZU KRISTU .    Eyatuuyana entuuyo z'omusaayi mu Getesmani ng'olaba ebigenda okukutuukako......,. YEZU KRISTU.             Eyakankana era n'ojugumira nga Kitaawo ataggwaawo mu kitiibwa Ekiyitirivu akusalira omusango olw'ebibi by'abantu bye baakola okuva ku Adam okutuusa ensi lw'eriggwaawo....... YEZ...

AMATENDO AG'OKKUDABIRIZA OSTIA ENTUKUVU

Image
Ayi Mukama Tusaasire ..........(x2) Ayi Kristu Tusaasire ........(x2) Ayi Mukama Tusaasire .......(x2)  Ayi Kristu tuwulire ..... Ayi Kristu tuwe Patri Ow'Omuggulu Katonda ..... tusaasire   Mwana Omununuzi w'ensi Katonda ...... tusaasire   Mwoyo Mutuukirivu Katonda ..... tusaasire    Trinita Omutuukirivu Katonda Omu ......tusaasire Ayi Ostia Entukuvu, eyaweebwayo ku lw' obulokofu bwaboonoonyi ..... Tusaasire   Ayi Ostia Entukuvu Ggwe ajoogebwa ffe ku Altari era ku Iwaffe ........ Tusaasire   Ayi Ostia Entukuvu, enyomebwa Abakristu abannyogovu ........ Tusaasire Ayi Ostia Entukuvu, akabonero ak'okuwakanyizibwa ..........Tusaasire Ayi Ostia Entukuvu eyaweebwayo eri Abayudaya n'abawakanyi .....  Ayi Ostia Entukuvu, ejolongebwa abo abavuma Katonda ....... Ayi Ostia Entukuvu, Omugaati gwa Bamalayika  oguweebwa ensolo ......Tusaasire " Ayi Ostia Entukuvu esulibwa mu bitoomi n'erinnyirirwa mu ttaka ..... Tusaasire   Ayi Ostia Entuk...

SSAPPULE Y'AMAZIGA GA NNYAFFE BIKIRA MARIA

Image
Mu linnya lya Patri Nzikiriza Katonda. Kitaffe ali mu Ggulu. Mirembe Maria (yogera ebyetago byo) Mu kifo kyekitiibwa (Ayi Yezu, tunula ku maziga ag'amusaayi ag'oyo eyakwagala ennyo okusinga abantu bonna era asinga okukwagala n'eyo mu ggulu) Mu kifo kya Mirembe Maria (Ayi Yezu wulira okwegayirira kwange olw'okubeera amaziga ag'omusaayi aga maamawo oyo omwagalwa ennyo.....X10 Bikira Maria ow'ekisa. Esaala Bikira Maria gy'atessamula,  AyiMaria Kabaka wange, mmange nze nneyanjula gy'oli nga sirina kye ndekayo ate nkusingira omusingo ogw'okwagala kwange, nkusingira leero amaaso gange, namatu gange, nakamwa kange, n'omwoyo gwange nange nkwekwasa nzenna omulamba Ayi Mmange omulungi bw olaba neerimbise ku ggwe, naawe nkuuma, nzibira ng'omuddu wo owuwo ku bubwo. Amiina.

NOVENNA Y'EMYOYO EMITUKUVU EGIRI MU PURIGATORI

Image
OLUNAKU OLUSOOKA (1) Ayi Yezu Mulokozi wange emirundi miingi wanidde okukasukibwa mu muliro ogutazikira nga nandiboonyeboonye nnyo. Singa nnali nkasukiddwa, era kindeetera okulowooza nti nze kennyini nze neretedde okuzikirira. Nkwebaza olw'obugumikiriza bw'ondaze Katonda wange nkwagala okusinga ebintu ebirala byonna neenenyeza nga nzija kuntobo y'omutima gwange olw'okukusobya nga ate ggwe oli bulungi obutakoma. Kati wakiri nnalondawo okufa okusinga okuddamu okusobya. Mpa enneema y'okunyiikira. Nkwatirwa ekisa wamu n'emyoyo egiri mu purigatori. Maria Nnyina Katonda giyambe n'essaalazo ez'amaanyi. Amiina Soma: Kitaffe ali muggulu........(x1)   Mirembe Maria.....(x1)   Essaala ya mulokozi wange abonaabona kulw'emyoyo egiri ma purigatori........(x1) ESSAALA YA MULOKOZI WAFFE ABONAABONA KU LW'EMYOYO EGIRI MU PURIGATORI Ayi omuwomerevu Yezu, muntuuyozo ez'omusaayi, zewafuna nga oli mu nnimiro y'eGetesimaani. Saasira emyoyo emitukuvu...

OKWESINGIRA KWA BANNADDIINI N'ABAKRISTU ABEEREERE ERI OMUTIMA GWA MARIA OGUTALIIKO BBALA

Image
Omubeererevu ow'e Fatima, Nnyina w'obusaasizi, Nnamasole w'eggulu n'ensi, Kiddukiro ky'aboonoonyi, ffe abali mu kisinde kyo Maria, twesingira Omutima gwo ogutaliiko bbala mu ngeri ey'enjawulo. Mu kikolwa kino eky'oku- kwesingira twagala nga tuli wamu naawe era nga tuyita mu ggwe, okussa mu nkola bye twetema mu ndagaano za Batismu yaffe. Era tusuubiza okukyusa emitima gyaffe nga Evanjili bw'ekitusaba, tusobole okuwona okugondera emibiri gyaffe n'ensi, okufaanana nga ggwe, bulijjo tukole ekyo kyokka Katonda Kitaffe ky'ayagala. Era nga twetema okukukwasa obulamu bwaffe n'okuyitibwa kwaffe nga Abakristu ggwe obira- mbike mu ntereeza zo ez'obu- lokofu mu kaseera kano aka nsa- leesale akalindiridde ensi, tukusuubiza ayi Nnyaffe omulungi era omusaasizi, okuyisa nga bw'o- yagala, naddala okwezza obuggya mutima ogw'okwegayirira n'okwebonereza, okwenyigira mu kukuza Ukaristia n'omutima gwo- nna, n'okwenyigira mu miri...