Posts

Showing posts from October, 2022

ESSAALA YA ANTONIO OMUTUKIRIVU OMUZUUZI W'EPADUA.

Image
    Ayi Antonio omutukirivu omukozi w'ebyewuunyo,okwagala katonda okutalojjaka kwe walina n'okwagala ebitonde n'abatonde b'Omukama,    byakusobozesa okukola ebyewuunyo nga okyali ku nsi  Ebyamagero byeziranga ggwe kwatula kigambo mu maaso ga katonda naddala nga osabira abali mu bwetaavu. Abalwadde wabaddizanga obulamu; wazuulanga ebibuze; abannyamidde mu mitima tiwabaggyako liiso era bw'otyo n'ozuukiza n'abafu. Mange nno nga nkwesengereza era nga nesiga nga bw'oli omuwolereza omuganzi mu maaso ga katonda nkusaba onzuulire kye nkusaba   (Ekyetago...... ...,)  Nsalira gonna mu buyinza obw'ebyewuunyo katonda bwe yekuwa onzuulire kye nkusaba ate nange ka nkusuubize okwebazanga katonda ennaku zonna ez'obulamu bwange.                                     A M I I N A.

ESSAALA YA YOANNA MARIA MUZEEYI OMUTUKIRIVU.

Image
    Ayi Yoanna Maria Muzeeyi ggwe Omujulizi Omutukirivu ddala eyayagala ennyo Katonda mungeri etatendeka n'emmeeme yo yonna neweewerayo ddala n'ebibyo byonna okumuweereza mu Eklezia we ngogondera abo beyakuwa okukufuga ddala kyakufuula ekirabo eri Kristu ekimuwunyisa akawoowo.      Olw'okwagala kwo kuno okuyitirivu, n'omukama yakufuula mukulu mutukirivu, mwayisa ebirungi enkumu okubituusa eri abantu be, Bw'otyo n'obawonyanga eddwadde nnyinji nga wayamba eddagala ly'obutonde. Ate ng'ojjudde amagezi ag'ekitalo, wayogeranga ebigambo ebiwoonya emitima egimenyese, n'ebizzaamu amaanyi abaterebuse nebitabaganya abasowaganye, kuno kwewassa n'omulimu gw'okununula abaddu, okuyamba abasibe n'okusomesa abatamanyi, bw'otyo n'ojjuza emirembe, essanyu n'okwagala mu bantu ba Katonda.       Nkwegayiridde nnyo, ggwe omuwonya w'emyoyo n'emibiri era omuleesi w'emirembe eri abakkiriza, nnyamba onsabire mu byetago byang...

NOVENA YA YUDA TADDEO OMUTUUKIRIVU.

Image
Essaala esomebwa mu nnaku mwenda okusaba Yuda Taddeo Omutuukirivu mu buyinike, ne bwe buba buyitirivu butya ne mu nnaku ne mubintu nga tebigenda bulungi. Mu linnya lya Patri.......... 1. Mukama wange Yezu Kristu bwe wali ng'okyali ku nsi kuno. Ggwe eyeegayirira Kitaawo ali mu ggulu emirundi mingi ate ne mu Getesimani n'okaaba amaziga wulira okwegayirira kwange mu Novena eno. (wano w'oyogerera ebyetaago byo oba okwebaza kwo.....) Essaala zange njagala okuziyisa mu mikono gya Mmange Biikira Maria ne Yuda Taddeo Omutuukirivu, muganda wo anti nga be bayambi era abadduukirize mu buzibu bwonna obwa buli ngeri. Amiina Kitaffe...... Mirembe Maria....... Ekitiibwa........ 2. Ayi Tuda Taddeo ow'ekisa omununuzi w'abanaku, gwe Katonda gwe yalonda nakukwasa ogw'okussa essira ku kukkiriza kwaffe ggwe eyabonaabona mu ngeri ennyingi n'oyiwa n'omusaayi gwo okusinga okwegaana mukama wo, tufunire enneema ey'enjawulo naffe tunywerere mu kukkiriza kwaffe, tub...

SSAPPULE YA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU .

Image
TUGISOME LUNYE TUYIGIRIZE N'ABALALA BANGI .  Mu linnya lya Patri n'erya Mwana n'erya Mwoyo Mutuukirivu .  Ayi Katonda , jangu Onnyambe ! Ayi Mukama , yanguwa Okunnyamba !   Yogera ebyetaago byo ....  Ekitiibwa kibe ekya Patri ........  Nzikiriza Katonda ....... Essaala Eyanjula :  Katonda wange , nkutonera Ssappule eno Ey'ebibonyobonyo Omusanvu ku Iw'okugaziya ekitiibwa kyo , n'olw'okussaamu Maama wo Omutukuvu ennyo ekitiibwa . Nja kwebuulirira ku kubonaabona kwe era nkugabaneko . Nkusaba nga oyima ku maziga ago ge yayiwanga mu budde obwo obuzibu , ompe wamu n'aboonoonyi bonna enneema ez'okubonerera ebibi byaffe .  Mpa wamu n'aboonoonyi bonna okubonerera okujjuvu okw'ebibi byaffe ' x3  Okwenoonya ( Examine your conscience )  ( Mussaala ez'enjawulo zetwesomera kinnoomu nga muno mw'otwalidde n'okwebuulirira , kiba kirungi nga enkola , okwemanyiiza okudda eri ssenga w'omutima , kuba okwenoonya kuno kuyamba nnyo mu...

AMATENDO GA NNYAFFE OW'EBIBONYOBONYO OMUSANVU . ( PAAPA PIO VII )

Image
 Ayi Mukama tusaasire ..........Ayi Mukama tusaasire   Ayi Kristu tusaasire.....Ayi Kristu tusaasire  Ayi Mukama tusaasire ..... Ayi Mukama tusaasire  Ayi Kristu Tuwulire... ..Ayi Kristu tuwe  Patri ow'omu ggulu Katonda.... Tusasire  Mwana Omununuzi w'ensi Katonda.....  Mwoyo Mutuukirivu Katonda ... .. Trinita Omutuukirivu Katonda omu....  Maria Omutuukirivu .... Otusabire  Maria Omutuukirivu Nnyina Katonda..... Otusabire  Omubeererevu omugole w'ababeererevu.....  Nnyina w'eyakomererwa....  Omuzadde anyoleddwa....  Omuzadde akungubaga....  Omuzadde akaaba....  Omuzadde anakuwadde....  Omuzadde eyerabiddwa.....  Omuzadde asinga okuba omunakuwavu.....  Omuzadde eyetooloddwa ennyike....  Omuzadde eyabutikirwa ennyike.....  Omuzadde eyatungibwa empiima.....  Omuzadde eyakomereerwa omutima....  Omuzadde eyanakuwazibwa okufa kwa mutabani wo Ejjuba erisinda....  N...

OKWEGAYIRIRA NGA TWESINGIRA OMUTIMA OMUTUKUVU DDALA OGWA MARIA OMUBEEREREVU

Image
         Ayi Kabaka wa Rozaari entukuvu ddala , Ggwe ekiddukiro ky'ezzadde ly'abantu bonna , Ggwe omuwanguzi w'entalo zonna ezirumba Katonda , laba tuutuno twevuunise mu maaso go , twetowaza . Twesigidde ddala nga tooleme n'otufunira enneema kutukwatirwa nga kisa n'otuyamba mu bubenje obuliwo mu nsangi zino . Ggwe wamma situliko kalungi na kamu ke tusinziirako kwesunga ebyo , naye tusuubira okubifuna ku lw'ekisa ekitenkanika ekijjuzizza Omutima gwo ogw'omuzadde . Mu budde buno obw'entiisa ku bantu bonna , tuzze gy'oli era twesingidde eri OMUTIMA gwo Omutukuvu ddala ogutaliiko bbala , ne , tweweerayo ddala gy'oli okukwemaliza , wamu , n'Eklezia Katolika abonyaabonyezebwa wonna mu nsi , era ajoonyesebwa ng'ayigganyizibwa mu ngeri ennyingi ; wamu n'ensi zonna , kuba zirimu okukyawagana anti kye kibonerezo ky'ettima lyazo     Laba nno ebyensi n'ebyomwoyo byonna byagala okuzikiririra ddala ; laba n'ennaku ze tutubid...

ESSAALA Y'OKWESINGIRA OMUSAAYI OGW'OMUWENDO ENNYO OGWA YEZU KRISTU

Image
[ Mwattu gisomenga buli lunaku , nga ossaako nnyo omwoyo ku by'oyatula ]   Nga eno bwe ndowooza , Ayi Mulokozi Omusaasizi , ku buteeyinza bwange , ate ne ku Buyinza Bwo , Obusukkiridde , nneeyala mu mwoyo gwange wansi w'ebigere byo ne nkwebaza olwobubonero obungi ennyo mwozze oyita okundaga nga enneema zompa bwe ziri akeesedde : nze ekitonde Kyo entasiima . Ate naddala nze nkebaza , olw'okundokola n'omponya amaanyi ga Sitaani amabi , nga oyita mu Musaayi ogw'Omuwendo Enyo . Mu maaso ga Mmange Omwagalwa Ennyo Bikira Maria ,n'aga Malaika wange Omukuumi , n'ag'Omutuukirivu Omuwolereza wange ; era ne mu maaso ga BannaGgulu bonna , nneeweelayo ddala nzenna nga sikakiddwa , n'omutima omwerufu ennyo , Ayi Omwagalwa Wange Yezu , eri Omusaayi Gwo Ogw'Omuwendo Ennyo , mwewayita okununula ensi nga ogiggya mu kibi , mu kufa , ne mu Muliro Ogutazikira , Nkusuubiza , olw'obuyambi bw'enneema Zo era n'okusinziira ku maanyi gange gonna gen...

AMATENDO G'OMUSAAYI GW'OMUWENDO ENNYO OGWA YEZU KRISTU

Image
 Ayi Mukama , tusaasire ( x 2 )  Ayi Kristu , tusaasire(x2)  Ayi Mukama , tusaasire(x2)  Ayi Kristu , tuwulire  Ayi Kristu , tuwe  Patri Ow'Omu Ggulu Katonda.... Tusaasire  Mwana Omununuzi w'ensi Katonda...... Mwoyo Mutuukirivu Katonda.....  Trinita Omutuukirivu Katonda Omu.....  VI : Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Omusaayi ogulokola ( x1 ):  RI : Tubikke wamu ne Ensiyonna  Ennyanja y'Omusaayi gwa Yezu Kristu : Tusumulule  Omusaayi gwa Yezu Kristu ogujudde Obutuukirivu n'ekisaasaazi : Tusumulule  Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , amaanyi gaffe n'obuvumu : Tusumulule  Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Endagaano ey'Emirembe gyonna : Tusumulule  Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Omusingi gw'Okukkiriza kw'Abakristu bonna : Tusumulule  Musaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Ekyokulwanyisa kya Katonda Ekikulu : Tusumulule  Musaayi ogw...

SSAPPULE Y'OMUSAAYI OGW'OMUWENDO ENNYO OGWA YEZU KRISTU

Image
MOTHER MARY  " Baana bange , Ssappule eno ey'Omusaayi ogw / Omuwendo Ennyo ogw'Omwana Wange ow'Obulenzi , ye kayungirizi we Bibiina byonna eby'Enkola Enkatoliki ebyekwanya ku Kubonyabonyezebwa kw'Omwana wange " [ Bikira Maria , 29 January 1997 ] . SSAPPULE Y'OMUSAAYI OGW'OMUWENDO ENNYO OGWA YEZU KRISTU.  Essaala Eziggulawo [ Tuyimirire ] Mu linnya lya Patri 6715 Oluyimba : Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu , Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo , nunula Ensi .   Okukowoola Mwoyo Mutuukirivu   VI : Jangu emitima gy'Abakkiriza ogikumemu omuliro gwokwagala Kwo . RI : Sindika Mwoyo Wo byonna bitondebwe , VI : N'ensi yonna ogitunuze buggya .  Twegayirire  Ayi Katonda , Ggwe eyabangula emitima gy'Abakukkiriza nga obatumira Mwoyo Omutuukirivu Oyo , ebirungi bye tuteekwa...

ESSAALA EY'OKWESINGIRA YOZEFU OMUTUUKIRIVU.

Image
 Ayi Yozefu . Omutuukirivu , Katonda gwe yayawula mu bonna , n'akutuwa tukwagalenga , tukukowolenga awatali kukuweeza ; nzuuno nvunnamye mu maaso go Katonda Patri ne Mwana ne Mwoyo Mutuukirivu , ne Nnyaffe Bikira Maria nga bandaba : nkulonze Kitange omwagalwa ennyo ofuuke Kitange , ompolerezenga , onkuumenga , onkulemberenga mu byonna Kkiriza nno , Kitange , nange ommenyere mu baana bo ab'obwebange beweraliikirira ennyo mu ngeri enjawufu . Obukolwa bwange bwonna , bufuulenga bubwo , obusiimulengako olufufugge olubi olubwonoona , olyoke obuweerezenga B.Maria mugole wo , ye -abutuuse eri Omwana we Yezu . Tonerabiranga mu kaseera ak'okufa kwange : omberanga kumpi , ng'ongobako sitaani kalittima antawaanya mu kabanga ako akazibu bw'otyo ontuuse n'eddembe mu lubiri lw'Omwana wo , gy'endyesiimira awamu naawe emirembe gyonna . " AyiYozefu entiisa y'amasitaani omuwolereza w'abazirika , tusabire .

ESSAALA ENNUNGI OKUSOMERANGA YOZEFU OMUTUUKIRIVU .

Image
Omwana wa Yozefu tarizikirira emirembe gyonna . kutuuka Iwe ndifa , njakwesiganga Ggwe Yozefu . Omuntu tayinza butasanga Yezu bw'aba asanze Ggwe Yozefu . Nange nno okutuuka eri Yezu , nnayitanga gy'Oli Yozefu . Omukulembeze wange , omulezi wange , ye Ggwe Yozefu Bulikabanga , nabuli kafo wennaabeeranga , nja kusanyusanga Ggwe Yozefu . Obudde nga bwakakya , njakukowoolanga Ggwe Yozefu .  Byonna ebinsanyusa binabanga ku Ggwe Yozefu , Nga mpandiika naasokeranga ku linnya lyo eddungi Yozefu . Mu byonna byonna bye nnakolanga , nja kugobereranga ekitiibwa kyo Yozefu . Nga ndya oba nnywa , nnabikoleranga mu maaso go Yozefu . Nga nnebase , omutima gwange gunakubanga Iwa kwagala Ggwe Yozefu . Bwe nnafunanga ebinsanyusa , nja kutenderezanga Ggwe Yozefu . Bwe nnakaabanga , ennaku zange nja kuziweerezanga Ggwe Yozefu . Bwe nnagwanga awabi , nnaddukiranga gy'Oli , Yozefu . Engabo enentasanga mu bikemo sironda mulala , wazira Ggwe Yozefu . Okwagala okubi nga kumwaliriza , nna...

Essaala ey'okusaba Yozefu Omutuukirivu , emirimo gyaffe agiwe omukisa gwe .

Image
Ayi Yozefu Omutuukirivu , Ggwe alabirwako abakozi b'emirimo , Omukama gwe yakwasa amaka g'eNazareti okugalabirira mu byonna ; nzuuno nkukwasa emirimo gy'amaka gano gewantekamu okugalabirira . Kitange omwagalwa , gatunuulize ekisa kyo ekingi , era togajuzanga kantu . Tuwe obuteeraliikirira bya nsi nga bitubuze ; ate nga tubifunye , tuwe obutabimalirako mitima gyaffe , n'okutwerabiza Omukama eyabituwa Abakulu tuwe okwagalana okwagalana obulungi n'okugumiikirizagananga , abato bakulize mu kukutya n'okukwesiganga , era obawulizanga bulungi byonna ebibabuulirirwa .  Obulwadde nga butulumbye oba ennaku endala zonna ,. tuwe obutaterebuka , naye twesige nga Katonda Kitaffe , nga Ggwe bwe wakola ! Ffenna ab'omu maka gano , tukusaba omukisa ogw'okusisinkana naawe mu bulamu buli obujja ; gye tulikutendera awamu ne Nnyaffe B. Maria mu gole wo , nga twesiimira mu lubiri Iwa Katonda Kitaffe emirembe gyonna . Amiina " Yozefu Omukuumi w'amaka amatuk...

AMATENDO GA NNYAFFE BIIKIRA MARIA

Image
MIREMBE AYI KABAKA OMUKYALA Mirembe Ayi Kabaka Omukyala , Nnyaffe ow'ekisa , bulamu bwaffe , ssanyu lyaffe , ssuubi lyaffe , mirembe . Tukowoola gy'oli ffe abaana abagobe aba Eva , Tukusindira nga tukaaba , nga tukuba ebiwoobe , mu kiwonvu kino eky'amaziga . Ayi Omuwolereza waffe , amaaso go ag'ekiisa gasimbe kuffe ,Ne Yezu , Omwana w'enda yo ow'Omukisa , omutulaganga , nga tuvudde mu kidduko kino . Ayi Omusaasizi , ayi ow'ekisa , ayi Bikira Maria Omuteefu . R / Ayi Nnyina Katonda Omutuukirivu , otusabire . V / Tulyoke tusaanire okufuna Yezu Kristu bye yatusuubiza . Twegyirire :  Ayi Katonda Nnyini Mwana omu omuzaale , eyatufunira empeera ey'obulamu obutaggwawo , nga twebuulirira ebikolwa bya Sappule ya Biikira Maria tuwe okugoberera kye bitegeeza n'okufuna kye bisuubiza . Ku bwa Yezu Kristu Mukama Waffe . Amiina . AMATENDO GA NNYAFFE BIIKIRA MARIA    Ayi Mukama tusaasire, ×2  Ayi Kristu Tusaasire, ×2   Ayi Mukama Tusaasire, ×2  Ayi K...

Essaala ya Mikayiri Omutukirivu Ssabamalayika

Image
Ayi Mikayiri Omutuukirivu Ssabamalayika, tuzibire mu lutalo lwetulwana namasitaani, tuyambe okuwona emitego gya sitaani ow'ettima; nga tukwesengereza eri Katonda amufuge! Ayi omugabe w'eggye eryo mu Ggulu, sitaani oyo ne bamalayika ababi, abasasanye wonna mu nsi okuzikiriza emyoyo gy'abantu, ku lw'obuyinza bwa Katonda, basukkize mu muliro ogutazikira. Amiina

ESSAALA EY'OKWESINGIRA BIIKIRA MARIA OMUTUUKIRIVU NGA TUJAGUZA EMYAKA 100 BUKYA ALABIKIRA E FATIMA

Image
Ayi Biikila Maria omutuukirivu Nnyina katonda ggwe eyakkiriza okulabikira e Fatima n' obuulira abaana abasatu Lusiya ,Francisko, ne Yasinta ekkubo katonda Lyayagala tutambuliremu okubonerera ebibi byaffe okuddabiriza katonda mumazima okwebonereza nokwegayirira ennyo tuutuno tuvunnamye mu maaso go nga tukwesengereza owulirize n'ekisa essaala yaffe abaana bo abakwesiga gye tukwanjulira ogituuse eri yezu omwana wo Tukusingira ensi yaffe Uganda otutaase akabi konna ak'omwoyo n'omubiri akatwolekedde mu nsangi zino ayi kabaka ow'emirembe tusabire emirembe egya nnamaddala egiva eri katonda ziyiza ebikolwa eby'obukambwe n'ettemu ebisusse mu nsangi zino wabeerewo okwagalana n'okusonyiwagana Mukama waffe yezu kristu bye yatuyigiriza Ayi Nnyina w' Eklezia , Eklezia wa katonda mufunyise okussa ekimu n'eddembe Abantu bonna abamwawukanyeeko olwempaka zaabwe oba olwokuwubwa bakomye wo. Abasinga obuwakanyi nobulimba bakyuse nabo abaddiridde bakol...

NOVENA YA MWOYO MUTUUKIRIVU

Image
Nga tutwala Essala eno, tutandika n’oluyimba lwa Mwoyo Mutuukirivu era oluvanyuma, tufukamira   netwegayirira. Kirungi tusooke okwenenya ensobi zaffe ate n’okusiiba kikulu eri abo abakisobola .  Ayi Mwoyo Mutuukirivu Katonda wange, nga nfukamidde mu maaso ge   Ggulu, nkwesingira nzenna, omwoyo gwange n’omubiri gwange, ayi Mwoyo   wa Katonda omulamu.  Ekitiibwa n’obuyinza bidde gyoli, olw’obutuukirivu bwo, olw’obwenkanya   bwo, ate n’olw’okwagala kwo. Gwe maanyi era ekitangaala ky’omwoyo   gwange. Mugwe mwenjagala okubeeranga n’okutambuliranga. Ayi Mwoyo   wa Katonda, mukyisaakyo nkuuma era nyamba nsigale nga ndaba   ekitangaala kyo era nsigale nga mpuliriza eddoboziryo n’okukwatanga   byonfuyirira. Nkwekutte, ayi Mwoyo Mutuukirivu, era nkwewa nzenna,   mukisaakyo eky’oluberera, nkuuma era ntaasa omponye eddogo,   obulwadde, namanyi g’omubi gonna, nfune emirembe egya nama...

AMATENDO GA MWOYO MUTUUKIRIVU

Image
Ayi Mukama tusaasire Ayi Mukama tusaasire  Ayi Kristu tusaasire Ayi Kristu tusaasire  Ayi Mukama tusaasire Ayi Mukama tusaasire  Ayi Kitaffe ow’omu Ggulu Katonda Tusaasire  Ayi Yezu Omununuzi w’ensi Katonda Tusaasire  Ayi Mwoyo Mutuukirivu Katonda Tusaasire  Ayi Trinita Omutuukirivu Katoonda Tusaasire  Ayi Mwoyo Mutuukirivu Omutonzi Tusaasire  Ayi Mwoyo w’amazima n’okutegera Tusaasire  Ayi Mwoyo w’obutukuvu n’obwenkanya Tusaasire  Ayi Mwoyo w’okumanya n’okubulirirwa Tusaasire  Ayi Mwoyo w’okwagala n’essanyu Tusaasire  Ayi Mwoyo w’emirembe n’obugumiikiriza Tusaasire  Ayi Mwoyo ow’ekisa n’obulungi Tusaasire  Ayi Mwoyo ow’obusaasizi n’obukakamu Tusaasire  Ayi Mwoyo w’obwesimbu n’obwetowaze Tusaasire  Ayi Mwoyo w’okwefuga n’okwagala Tusaasire  Ayi Mwoyo okwagala kwa Kitaffe n’eMwana Tusaasire  Ayi Mwoyo n’obulamu bw’emyoyo emitukuvu Tusaasire  Ayi Mwoyo omuliro ogwaka Tusaasire Ayi Mwo...

NOVENA YA BIKIRA MARIA OW'E FATIMA

Image
 Ayi Bikira Maria Nnyabo , ggwe eyakkiriza okulabikira e Fatima , nga ogenderera okulaga obugagga n'ekitiibwa kya Rozaali Entukuvu , tuyigirize okusoma Ssappule ate n'okujaagala , tumanye nti mwemuli okununulibwa kw'ebikolwa byaffe , komyawo abonoonyi , kyusa abakulembeze bensi eno , nange ............ ............. ( Yongerako ekyetaago kyo ) Bye tukusaba mu Novena eno , Okuwa Katonda ekitiibwa , naffe bitugase , awamu n'emyoyo emirungi gyonna . Amiina . Bikira Maria owa Rozaali ew'e Fatima Tusabire

EBIKOLWA BYA SSAPULE

Image
EBYAMAGERO EBY'ESSANYU(Monday & Saturday)  i. Eky'amagero ekisooka : Malaika Gabrieli Omutuukirivu abuulira Maria nti alizaala Omwana wa Katonda; Ayi Maria otusabire empisa ennungi ey'obwetowaze (Lk 1:30-31).  ii. Eky'amagero eky'okubiri: Biikira Maria akyalira Elizabeti Omutuukirivu mugandawe;Ayi Maria otusabire empisa ennungi ey'okwagalana (Lk 1:39-41).  iii. Eky'amagero eky'okusatu: Biikira Maria azaala Yezu Kristu e Betelemu mu Kisibo ky'ente; Ayi Maria tusabire tube baavu mu mwoyo (Lk 2:6-7).  iv. Eky'amagero eky'okuna: Biikira Maria atwala Yezu Kristu mu Eklezia okumusingira Katonda naye ye nnyini okwetukuza; Ayi Maria tusabire empisa ennungi ey'obutukuvu (Lk 2: 6-7).  v. Eky'amgero eky'okutaano : Biikira Maria azuula Yezu Kristu mu Eklezia nga ayigiriza abakulu ab'eddiini Ayi Maria tusabire empisa ennungi ey'obuwulize (Lk 2:22-23).     EBY'AMAGERO EBY'EKI...

SAPPULE EY'OBUSAASIZI

Image
Mukama sasiira eggwanga lyaffe! 3PM   ESAALA EY'ESSAWA OMWENDA Ayi Yezu wafa, naye ensulo y'obulamu n'efumbukuka okugasa emyoyo n'enyanja y'obusaasizi n'eggulirwawo ensi yonna. Ayi oluzzi lw'obolamu ekisa kya Katonda ekitakoma, wambaatira ensi yonna weemaliremu ddala, otubundugguleko ebirungi byo.  Ayi omusaayi n'amazzi ebyafumbukuka nga biva mu mutima gwa Yezu ng'ensulo omutuviira obusaasizi - Nkwesiga (×3)   SAPPULE EY'OBUSAASIZI  _KU MPEKE ESATU (3) EZA MIREMBE MARIA OSABA_  1. Kitaffe ali mu ggulu  2. Mirembe Maria  3. Nzikiriza Katonda    KU MPEKE YA KITAFFE ALI MU GGULU  Ayi Kitaffe attaggwaawo, nkuweereza omubiri n'omusaayi, omwoyo n'obwa Katonda bw'omwana wo omwagalwa ennyo mukama waffe Yezu Kristu, okuddaabiriza olw'ebibi byaffe era n'ebyensi yonna.    KU MPEKE EKUMI (10) EZA MIREMBE MARIA Olw'okubeera okubonaabona okuyitirivu ennyo okwa Yezu.  Tukwatirwe ekisa wamu n'ensi yonna.    NG'OMALIR...

AMATENDO GA PADRE PIO OMUTUUKIRIVU ( Eri abo abamulinamu obwesige obwomunda )

Image
Ayi Mukama tusaasire..... (x2)  Ayi Kristu tusaasire.....  Ayi Mukama tusaasire.....   Ayi Kristu tuwulire.....  Maria Omutuukirivu Fransisko Ow'Assisi Omutuukirivu.....Tusabire   Empagi y'Abakkiriza Omwefaanaanyiriza wa Kristu..... Tusabire  Omusaaseredooti wa Katonda Asaanidde.... Tusabire   Padre Pio Omutuukirivu Ttendo lya Babbulaaza Abakapuchini....  Omuyigiriza w'Amazima....  Entiisa y'emyoyo emigwagwa....  Mukubagiza w'abali mu bulumi....  Muyambi w'abali mu bwetaavu.... Muwolereza Katonda ggwe yeeroboza.... Mukozi w'ebyewuunyo.....  Olw'ebisaanyizo bya Padre Pio....  Tulokole Ayi Mukama Olw'obutaweera ng'anoonya okuzza gy'oli aboonoonyi...... Tulokole Ayi Mukama Olw'okuyigiriza kwe n'okusomesa kwe.... Tulokole Ayi Mukama  Olw'amaziga ge yakaabanga okusonyiyisa aboonoonyi... Tulokole Ayi Mukama Olw'obugumiikirizabwe n'eggonjebwa.... Tulokole Ayi Mukama  Olw'enfa ye ey'ekitiibwa...

ESSALA YA NOVENA ERI PADRE PIO:( Bonna bafukamira )

Image
 Ayi Padre Pio Omutukirivu , ggwe mukuumi era omuwolereza omwesigwa ow'abo bonna abakwagala era abakussaamu ekitiibwa . Nkwesigira ddala era neesiga n'obukozi bwo obw'ebyewuunnyo.Obuyinza bwo obulina ku lwa Katonda era bw'otyo toliyinza kulekerera bagobeerezi bo abakwesiga . Nsitulidde omutima gwange gy'oli nga nkusaba ompolereze n'obuyinza bwo bw'olina . Nsabira eri Katonda nfune kye neetaaga . ( Kyosaba kyogere , oba soma ebyetaago ) Olw'okuba oli wakisa eri aboonoonyi , totunuliira nga bwe sisaanidde wabula fa ku kitiibwa kye nnaayongera okuwa Katonda nga mpita mu ggwe olw'okumpa kye nkusaba kaakano . ( Soma Kitaffe ... Mirembe Maria ... Ekitiibwa ... ) Ayi Padre Pio Omutukirivu , Omukubagiza w'abali mu bulumi nkusaba onnyambe . Watuddukirira n'okwagaala okutagambika era n'otukubagiza awatali kwerekereza Nkwebaaza n'okwebaza n'omutima gwange gwonna . ( Soma Kitaffe ... , Mirembe Maria . , Ekitiibwa ... ) Kiriza ek...

ESSALA YA NOVENA ERI NNYAFFE ATAGGULULA EBIFUNDIKWA( MOTHER MARY UNDOER OF KNOTS)

Image
 Maria Embeerera , Maama Omwagalwa , Maama atayabulira mwana ali mu bwetaavu , Maama ow'emikono egitaweera nga gikolerera abaana be kubanga Okwagala kwa Katonda kugiwujja era n'Ekisa kye Ekitakoma ebiri mu mutima gwo . Amaaso go ag'ekisa gasimbe ku nze olabe ebifundikwa ebyezinze ebiri mu bulamu bwange . Omanyi okuterebuka n'obulumi byebindeetera . Omanyi bwe binsannyalaza . Maria , Maama ggwe Omukama gwe yawa okutaggulula ebifundikwa mu bulamu bw'abaana be , nteeka obulamu bwange mu mikono gyo . Tewaabe n'omu , yadde Omubi anaggya obulamu bwange mu mikono gyo emisaasizi . Mu mikono gyo teri kifundikwa kitataggululwa . Maama ow'obuyinza , olw'enneema yo n'okumpolereza eri Omwana wo Yezu , Omulokozi wange , nkukwasa ekifundikwa kino ( yogera ekifundikwa / ekyetaago kyo ... ) . Nkuwanjagira okitaggulule kati era n'ebbanga lyonna olw'ekitiibwa kya Katonda . Ggwe ssuubi lyange . Wekka ggwe kikubagizo Katonda gweyampa , ekigo ekigumya ...

NOVENA EY'ENJAWULO ERI OMUTIMA OMUTUKUVU OGWA YEZU

Image
1. Ayi Yezu wage, wagamba nti " Mazima mbagamba nti, "Musabe muliweebwa, Munoonye mulizuula, Mukonkone ku luggi muliggulirwawo" , Nzuuno nkokona, nnoonya, era nsaba enneema.........   Kitaffe... Mirembe Maria... Ekitiibwa... Omutima Omutukuvu ogwa Yezu obwesige bwange bwonna mbutadde mu Ggwe. 2. Ayi Yezu wange, wagamba nti " Mazima mbagambira ddala nti Buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, Alikibawa  ". Nzuuno nsaba mu linnya lyo, Patri ampe enneema.........   Kitaffe... Mirembe Maria... Ekitiibwa... Omutima gwa Yezu Omutukuvu ddala nkwesiga n'omutima gwange gwonna. 3. Ayi Yezu wange, wagamba nti " Mazima ddala mbagamba nti, eggulu n'ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo ". Nzuuno nga neesigira ddala ebigambo byo ebitawubwa, nkusaba kakaano enneema eyo.........   Kitaffe... Mirembe Maria... Ekitiibwa.. . Omutima gwa Yezu Omutukuvu ddala nkwesiga n'omutima gwange gwonna. Ayi Omutima Omutukuvu ogwa Y...

NOVENA YA SR AMEDEO

Image
   Ayi Mukama Katonda Waffe Ssebintu Omuzirakisa, Ensibuko y'Obutuukirivu nga tufukamidde mu maaso go era nga twekutte ku Nnyaffe Biikira Maria ataliiko bbala,tukusaba: Omuzaana wo Sr. Amedeo Byabali omukozese ebyewuunyo asobole okulangibwa mu lubu lw'Abeesiimi.  Ekisa nga kimugiriddwa naffe kituyambe okwezza obuggya mu kukwagala,mu kukwemaliza, Mu kukolerera Klezia wo n'ensi yaffe, ne mu ku kuweereza mu bantu bo nga tuli basanyufu. Ekyo tukikusaba ku bwa Yezu Kristu Mukama waffe.Amiina Nange,ayi Mukama,ntunuuliza ekisa mu bino bye nkusaba.....(ekyetaago kyo) Kitaffe ali mu Ggulu.... Mirembe Maria... Ekitiibwa kibe ekya Patri.... Ayi Maria ow'Ekisa